Bukedde Ku Ssande
VerifiedOnline/Digital
Actions
Media Outlet details
| Scope | National |
|---|---|
| Language | English, Ganda, Kinyarwanda |
| Country | Uganda |
|
Similarweb UVM |
Request pricing |
|
Comscore UVM |
Request pricing |
Recent Articles
Search ArticlesAgambibwa okufera Bannayuganda obuwumbi bwa ssente n'adduka ebweru akwatiddwa
Agambibwa okufera Bannayuganda obuwumbi bwa ssente n'adduka ebweru akwatiddwa By: Godfrey Kigobero, Journalist OMUVUBUKA eyali omwejalabi ng’asaasaanya ssente Christine Asiimwe, amanyiddwa nga Don Chris, akwatiddwa poliisi ku misango gy'okunyaga ssente ku Bannayuganda abawerako. Don Chris nga ye yali ddayirekita wa Sky Pins , yadduka mu ggwanga gye buvuddeko, wakati mu kuduulira abantu b'agambibwa okunyagako ssente eziri mu buwumbi , ng'abasuubiza emirimu ebweru.
Poliisi ekutte abasajja 13 n'abakazi 8 mu kikwekweto ky'obumenyi bw'amateeka e Namayingo
Poliisi ekutte abasajja 13 n'abakazi 8 mu kikwekweto ky'obumenyi bw'amateeka e Namayingo By: Godfrey Kigobero, Journalist ABANTU 21 abagambibwa okubeera abamenyi b'amateeka, bakwatiddwa poliisi mu kikwekweto ky'ekoze e Namayingo. 13 ku bano basajja ate 8 bakazi era nga baggyiddwa mu bbaala mu ssaawa ezitakkirizibwa, n'ebifo mwe bazannyira zzaala, abo abawogganya ebidongo n'abo abagambibwa okwekweka mu bifo ebikyamu.
Abaakwatibwa ku by'okubba abantu n'ebijambiya e Kajjansi baakuvuunanibwa mu kkooti
Abaakwatibwa ku by'okubba abantu n'ebijambiya e Kajjansi baakuvuunanibwa mu kkooti By: Godfrey Kigobero, Journalist Abantu babiri abeebijambiya abagambibwa okuyingirira abatuuze e Kajjansi ne bababba, bakwatiddwa poliisi. Abaakwatiba, kuliko omuvuzi wa bodaboda Derrick Kakooza era nga baamusanga n'ebigambibwa okuba ebimu ku bintu ebyabbibwa.
Endongo ya Ntale erarudde abadigize ku Skyz e Naguru
Endongo ya Ntale erarudde abadigize ku Skyz e Naguru By: Patrick Kibirango, Journalist OMUYIMBI Irene Ntale, akubye endongo ye layivu ku siteegi, esitudde abadigize mu ntebe ne batandika okunyeenyaamu ng’eno bwe bayimba naye ennyimba ze, ku woteeri ya Skyz e Naguru.
Omubaka ayagala okuttibwa kwa Okello kwanguyizibweko
Omubaka ayagala okuttibwa kwa Okello kwanguyizibweko By: Aminah Shakirah Nalugo, Journalist OMUBAKA wa Bugangaizi East County, Onesimus Twinamasiko, asabye gavumenti okwanguya okuttibwa kwa Christopher Okello Onyum, eyasingisibwa omusango gw’okutta abaana abato abana mu April 2026 n'asalirwa ekibonerezo ky'okufa. Bino yabyogedde bwe yabadde mu lutuula lwa palamenti ku Lwokusatu ababaka bwe baabadde boogera ku nsonga eziruma eggwanga.
3 basimattuse okufiira mu kabenje e Nakasongola
3 basimattuse okufiira mu kabenje e Nakasongola By: Samuel Kanyike, Journalist ABANTU basatu basimattuse okufiira mu kabenje akagudde ku kkubo eridda e Kitangaala mu Kakooge Town Council mu disitulikiti ya Nakasongola. Mmotoka eyabadde mu kabenje kano.
Oluzungu lutagazza bassentebe b'ebyalo nga balayira
Oluzungu lutagazza bassentebe b'ebyalo nga balayira By: Wasswa Ssentongo, Journalist KABADDE kaseera kazibu eri abakulembeze ba LC1 mu diviizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana bwe babadde bakuba ebirayiro byabwe eby’okuddamu okukulembera ebyalo byabwe nga bano wakati mu kulayira oluzungu lutagazza abakulembeze bano abamu ne batuuka n’okulayira mu lulimi oluganda. Omu ku bassentebe ng'alayira.
Ab'e Nakawa basimbidde ekkuuli ekiragiro kya KCCA eky’abatuuze okusasulira kasasiro
ABAKULEMBEZE mu Nakawa basimbidde Ekkuuli ekiragiro kya KCCA eky’okusasulira kasasiro ku lunaku lwa bulungibwansi olwateekebwawo Gavumenti nga bagamba nti kino kigenda kutiisa abantu okumukungaanya.
Poliisi ekutte babiri mu bubbi bwa ppikipiki e Iganga
Poliisi ekutte babiri mu bubbi bwa ppikipiki e Iganga By: Godfrey Kigobero, Journalist ABANTU babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bwa pikipiki, bakwatiddwa poliisi e Iganga. Abakwatiddwa, kuliko Arafaati Musenze 32 omutuuze w'e Lwerera mu ggombolola y'e Nawanyigi ne Joshua Kuzegera 57 nga mutuuze w'e Bukoyo mu ggombolola y'e Bulamagi e Iganga.
Maneja wa Irene Ntale ayingidde bizinensi y'ebibajje
Maneja wa Irene Ntale ayingidde bizinensi y'ebibajje By: Musa Ssemwanga, Journalist Maneja wa Irene Ntale ayingide ebibajje Wadde waliwo ekirowoozo ekyaleetebwa mu kakiiko ka Palamenti akamu ku bibajje n’ababitunda, Sandra ye agamba teri kuzikiza. Sandra akola nga maneja w’omuyimbi Irene Ntale era agukoze emyaka gyonna bukyanga omuyimbi ono ayawukana ne Swangz Avenue abaali bamutwala.